
Kkooti Esazizzaamu Obuwanguzi bwa Nalukoola , Munna NRM Faridah Nambi Azina Gudiikudde.
- ByAdmin --
- May 27, 2025 --
Omulamuzi wa Kkooti atawuluza enkaayana z'ebyokulonda ku Twed Towers esazizaamu okulonda kwa Kawempe North okwawangulwa munnakibiina ki NUP Erias Luyimbazi Nalukoola. Omulamuzi Benard Namanya bw'abadde asazaamu okulonda kuno agambye nti kwalimu okutyoboola eddembe ly'abalonzi n'okusaba akalulu mu kiseera ky'okulonderamu nga bino byakolebwa Nalukoola.