Kitunzi Akubirizza Abazadde Okusomesa Abaana
- ByAdmin --
- Jun 12, 2024 --
Omwami wa Kabaka atwala essaza lye Gomba, Kitunzi Mugabi Fred William asabye abayizi okusoma amasomo agalina akatale k’emirimu mu ggwanga n’okubeera n’ekigendererwa nga basoma. Kitunzi okwogera bino asinzidde mu musomo gw’okubangula abayizi ogubadde ku mbuga ye ssazza Gomba nategeeza nti ensangi zino abayizi beesanze nga bamala gasoma masomo gebasanze era nga kyetaagisa okufuna emisomo nga gino okusobola okukyusa kubirowoozo.