Kitalo! Omutaka Lwomwa Attiddwa, Abadde Anaatera Okutuuka mu Maka ge

Omukulu w’Ekika ky’Endiga, Omutaka Lwomwa Daniel Bossa akubiddwa amasasi agamuttiddewo bwabadde anatera okutuuka ku geeti y’amaka ge agasangibwa e Lungujja mu Lubaga. Omutaka abadde ava ku mukolo gw’Ekika e Katosi mu Kyaggwe nga kigambibwa nti abamukubye amasasi bazze bamuwondera okutuusa webamukubye amasasi. Abatuuze b’ekitundu olulabye abasajja ababiri abateeberezebwa okukuba Omutaka Lwomwa amasasi basitukiddemu nebabawondera okukkakkana nga babakutte era nabo nebabakkakkanako nebabakuba okutuusa omu bwebamuttiddewo. Okusinziira ku beerabiddeko n’agabwe kwossa ensonda mu by’okwerinda omu mulamu era kiteeberezebwa nti atwaliddwa mu ddwaliro okujjanjabwa. Jjaaja Lwomwa Daniel Bbosa nga tannakubwa masasi asoose kulambula ab’Amasiga nga tandikidde mu Ssaza lya Beene ery’e kyaggwe nasisinkana ow’Essiga lya Ssekoba Saako Steven Sserunkuma n’abakulu abava mu Ssinga lino n’ekigendererwa ky’okubakunganya okumanya obuvo bwabwe n’Ensibuko ng’eno y’emu ku nteekateeka zeyalangirira gyebuvuddeko


https://youtu.be/ZfwXFcBi9jE?si=espyDEKelOEOi3Hv

LEAVE A COMMENT