Kitalo! Loole esse omuntu ku Nnyanja ya Kabaka, Poliisi Etandise Okunoonyereza
- ByAdmin --
- May 29, 2024 --
Omuntu omu afiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lwa Nabachwa olumanyiddwa ennyo ng’oludda ku Nnyanja ya Kabaka oluvanyuma lw'emmotoka ekika kya Canter okulemererwa okulinnya akasozi nedda emabega nesaabala omukyala abadde mu makaage. Okusinziira kubeerabiddeko n'agaabwe bagamba nti emmotoka eno ebadde mu mbeera mbi ate ng’etisse nnyo ekigiviiriddeko okulemererwa omugoba waayo nedda emabega gy'ettidde omukyala abadde ku mirimu gye.