Kitalo ! Abantu Mukaaga Bafiiiridde mu Kabenje, 30 Bapooca na Bisago

Akabenje kagudde ku kyalo Kirumba ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara bbaasi ya Kampuni ya Gate Way bweyambalaganye ne Fuso ebadde etisse obuwunga bwa kasooli okukkakkana nga abantu mukaaga ababadde mu bbaasi bafiiriddewo ate abalala abasoba mu 30 ne baddusibwa mu malwaliro nga biwala ttaka. Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Masaka Twaha Kasirye alabudde abagoba b’ebidduka kyokka n’ategeeza nti okunoonyereza ku kabenje kano kutandise.


https://www.youtube.com/watch?v=Y83RgpfQ2Lo

LEAVE A COMMENT