
Kibuyaga Agoyezza Abatuuze, Ennyumba n’Ebirime Abirese ku Ttaka
- ByAdmin --
- Mar 12, 2025 --
Nnamutikwa w'enkuba abaddemu kibuyaga n’omuzira agoyezza abatuuze mu ggombolola ye Nabigasa ne Kirumba mu disitulikiti ye Kyotera nebasigala nga tebalina wakwegeka luba. Enkuba eno etikkudde obusolya bw’ennyumba eziwerako nga kwotadde okwonoona ensuku n'ebirime omuli emwaanyi, muwogo n'ebirala era abatuuze boolekedde enjala.