KCCA Eyimirizza Omugagga Ham Okuzimba ku Mwala gwe Nakivubo, Ham Agamba Agenda Kugoberera Ebiragiro
- ByAdmin --
- Nov 21, 2024 --
Akulira ekitongole ki KCCA ow’ekiseera Frank Rusa ayimirizza omugagga Hamis Kigundu obutaddamu kuzimba ku mwala gwe Nakivubo okutuusa nga akakiiko k’abakungu okuva mu KCCA kawaddeyo alipoota yaako ekwata ku mwala oguli mu kuzimbibwako. Kino kiddiridde Frank Rusa n’abakugu okuva mu KCCA olwaleero okulambula omwala oguli mu kuzimbibwa nebazuula nga waliwo ebitatambula bulungi.