Katikkiro Charles Peter Mayiga Awabudde aba NUP, Ensonga Muzikwate Kisajja Kikulu

Katikkiro Charles Peter Mayiga awabudde ekibiina ki National Unity Platform ku ndooliito zekirimu ensangi zino nti ky’ekiseera bazikwate mu ngeri ya kisajja kikulu batuule bazigonjoole bwebaba baagala okuwangula emitima gya banna Uganda bongere okubakkiririzaamu okusinga okweyuzaayuza mu lujjudde. Bino bibabadde mu bubaka bwa Katikkiro mu nsisinkano gy’abaddemu n’abakulembeze b’ekibiina ki National Unity Platform ababadde bakiise Embuga okugula emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka.


https://www.youtube.com/watch?v=PmrF3Jpe2Kc

LEAVE A COMMENT