
Katikkiro Ayambalidde Bannabyabufuzi Abaganda Abeezinga ku Nsonga za Buganda , Agambye Tebabalonda
- ByAdmin --
- Jun 17, 2025 --
Katikkiro Charles Peter Mayiga si musanyufu ne bannabyabufuzi abava mu Buganda ebebuzaabuza wegutuuka ku nsonga z’Obwakabaka. Wano Katikkiro w’asabidde abantu ba Buganda okuwagira abo bokka abatambula n’Obwakabaka mu nteekateeka ezenjawulo. Bino abyogeredde mu Lukiiko lw’embalirira y’Obwakabaka bwa Buganda olwaleero wano e Bulange Mengo.