Katikkiro Atuuse e Bungereza, Agenze Kwetaba mu Tabamiruka
- ByAdmin --
- Sep 13, 2024 --
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga atenderezza emirimu amakula egikolebwa Abaami ba Kabaka abamukulembererako Amasaza ge ag'ebweru okukumaakuma abantube nebabeera bumu nebasigala nga bawagira enteekateeka z’Obwakabaka. Bino abyogeredde Bungereza bwabadde atuuse ku kisaawe ki Gatwick mu kibuga London gyagenze okwetaba mu Ttabamiruka w’abantu Bakabaka abawangaalira e Bulaaya.