
Katikkiro Atongozza Omwaka gwa Mmwanyi Terimba 2025/26, Asabye Abantu Okwerinda Bannabyabufuzi
- ByAdmin --
- Jun 13, 2025 --
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu ba Kabaka okwewala okulima Emmwanyi mu ngeri etatuukanye na mutindo wabula bagoberere amagezi agabaweebwa abakugu okuva mu Bwakabaka kibayambeko okuganyulwa mu Mmwanyi olwo ne Buganda lwenedda ku ntikko. Katikkiro bino abyogedde atongoza omwaka gwa Mmwanyi Terimba 2025/2026 nga omukolo guno gubadde mu disitulikiti e Mityana mu Ssaza Ssingo.