
Katikkiro Atongozza Omusomo gw’Abataka 2025, Asabye Abazadde Okubeera eky’Okulabirako eri Abaana
- ByAdmin --
- May 01, 2025 --
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abazadde okubeera eky'okulabirako ekirungi eri abaana baabwe nga bayita mu Nnono, empisa n'Obuwangwa. Mukuumaddamula okwogera bino abadde atongoza enteekateeka z'omusomo gw'Abataka abakulu ab'obusolya ogunaabeerawo nga ennaku z’omwezi 24 October omwaka guno mu Lubiri e Mengo era n’asaba abazzukulu okugujjumbira.