Katikkiro Atikkudde Olulawo, Abe Kabula ne Ssingo Baleese Obukadde Obusobye mu 25

Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga akakasizza nti Buganda teyinza kwabulira bakulembeze abagisaamu ekitiibwa abali ku mitendera era n’asekerera abakyanyooma Obwakabaka. Okwogera bino Katikkiro abadde ku Mbuga enkulu e Bulange e Mengo bwabadde asisinkanye abantu ba Ssaabasajja Kabaka okuva mu masaza Kabula ne Singo abaleese oluwalo olwaleero. Bano baleese oluwalo lwa bukadde bw’ensimbi obusobye mu 25 nga zino zezimu kwezo eziyambako okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.


https://youtu.be/9py5wTPOvPg?si=CaN_Wv2QMrY5FI8H

LEAVE A COMMENT