
Katikkiro Asisinkanye Ssaabalamuzi Owiny Dollo, Boogedde ku Nkwata Y’emisango mu Ggwanga
- ByAdmin --
- May 29, 2024 --
Obwakabaka bwa Buganda buwagidde enteekateeka y’ekitongole ekiramuzi ey’okugunjaawo enkola y’okugonjoola emisango wabweru wa Kkooti naddala egy’enkayaana ku ttaka nga bakozesa abakulembeze ku byalo,eggombplolola nebirala okulaba nga essiga eddamuzi likendeeza obungi bw’emisango lyegitubidde nagyo abantu basobole okufuna obwenkanya mu bwangu. Bino bituukiddwako mu nsisinkano Katikkiro gy'abaddemu ne Ssaabalamuzi wa Uganda Alfonse Owiny Dollo enkya yaleero ku kitebe ky’essiga eddamuzi.