Katikkiro Asisinkanye Omubaka wa Butuluuki mu Ggwanga , Amusuubizza Okunyweza Enkolagana Ennungi
- ByAdmin --
- May 17, 2024 --
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisisnkanye omubaka w’eggwanga lya Butuluuki mu Uganda Mehmet Fatih akiise Embuga enkya ya leero n’okwongera okumanya ebifa Embuga wamu n’okubagawo enkolagana ennungamu n’Obwakabaka. Mu nsisinkano eno, ow’Omumbuga ategeezezza nti baakwongera okuzuula emikisa naddala egyemirimu eri bazzukulu ba Nambi n’Eggwanga lyonna okutwaliza awamu kisobozese Buganda okudda ku ntikko. Ye Mehmet Fatih asuubizza okwongera okunyweza enkolagana yabwe n’Obwakabaka naddala mu kutumbula ebyenfuna.