
Katikkiro Asisinkanye Bannamikago, Abasabye Okwekwata Obwakabaka Bakulaakulane
- ByAdmin --
- Apr 04, 2025 --
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye ebitongole eby’enjawulo okwettanira enteekateeka z’Obwakabaka bwe biba byagala okugaziya eby’enfuna byabyo kubanga Obwakabaka bwa Buganda abantu babukkiririzaamu ebitagambika. Bino abyogeredde wano ku Mbuga enkulu ey’Obwakabaka e Bulange Mengo bwabadde akwasa ebitongole eby’enjawulo emijoozi gy’emisinde gy’Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka.