Katikkiro Asisinkanye Abayizi Abasoma Amateeka, Abalabudde Okwewala Obulyake mu Buweereza Bwabwe
- ByAdmin --
- Jun 12, 2024 --
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga simusanyufu ne bannamateeka abalya ku bantu ensimbi ate nebeekobaana nebebavunaana nebafutyanka emisango gyabwe nti kimenya amateeka agafuga bannamateeka. Bino Kamalabyonna abyogeredde ku mbuga enkulu ey’Obwakabaka bwabadde asisinkanye abayizi abasoma amateeka ku Kampala International university.