Katikkiro Asisinkanye Abasogozi b’Omwenge, Asabye Abantu ba Kabaka Okukomya Okutamiirukuka
- ByAdmin --
- Jun 20, 2024 --
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Bannayuganda okwewala okunywa omwenge oguyitiridde nga kwotadde n'ogutatuukaganye na mutindo ekiyinza okukosa obulamu bwabwe. Bino bibadde mu nsisinkano n’abakungu okuva mu kibiina ekigatta abasogozi b’omwenge ki Uganda Alcoholic Industrial Association gyebabaddemu okubagawo enkolagana ku ngeri gyebayinza okulwanyisa omuze gw’abantu abanywa omwenge oguyitiridde.