
Katikkiro Asabye Abafumbo Okuwangana Ekitiibwa, Ayagala Abazadde Bakulize Abaana mu Ddiini
- ByAdmin --
- Jan 27, 2025 --
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abazadde okufaayo ennyo ku nkuza y’Abaana babwe bwebaba baagala babeere ba mugaso mu nsi. Bino abyogeredde Munyonyo ku Ekerezia y’ekijjukizo ky’Abajulizi bwabadde yeetabye mu Mmisa y’okugatta abagole Muwala wa munnamateeka owa Buwuule and Mayiga Company Advocates Omuk. Francis Buwuule, Prossy Nakawuka ne kabiite we Dennis Kaweesi mu bufumbo obutukuvu.