Katikkiro Alambudde NARO, Akubirizza Abalimi Okwettanira Tekinologiya
- ByAdmin --
- Jan 31, 2024 --
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abalimi mu ggwanga okulaba nga bettanira enkola eya tekinologiya n’okwaniriza okuwabulwa kw’abakugu mu mulimu gwabwe bwebaba baagala okuguganyulwamu. Katikkiro okwogera bino abadde alambula amatendekero g’ebyobulimi agali wansi we’kitongole kya NARO.