Katikkiro Alambudde Ekkolero lya Tekinologiya mu Eswatini, Asabye Gavumenti Okwettanira Tekinologiya
- ByAdmin --
- Nov 13, 2024 --
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye gavumenti ezimbe ekifo abantu abalina obukugu mu tekinologiya naddala abayizi webasobola okumwaluliza agase abalala n’okutumbula enkulaakulana. Bino abyogeredde mu ggwanga lya Eswatini mu Kibuga Phocweni bw’abadde alambula ekifo mwebaaluliza tekinologiya ki Royal Science and Technology Park.