Katikkiro Alambudde Ebitongole By’obwakabaka, Alambudde BUCADEF BICAL ne Majestic Brands
- ByAdmin --
- May 23, 2024 --
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abaweereza mu bitongole by'Obwakabaka okukola emirimu gyabwe mu bwesimbu ate n'okubeera abeerufu kiyambeko okusitula ekitiibwa ky'Obwakabaka. Katikkiro abadde alambula abaweereza mu bitongole by'Obwakabaka okubadde BUCADEF, BICAL, ne Majestic Brands okulaba engeri gyebatambuzaamu emirimu.