
Katikkiro Alambudde Amasiro, Gaggulwawo Obudde Bwonna
- ByAdmin --
- Feb 13, 2025 --
Katikkiro Charles Peter Mayiga si musanyufu ne bannakigwanyizi abamulima empindi ku mabega nga bagamba nti obukulembeze bwe bututte ebbanga ddene nga tebumaliriza Masiro ge Kasubi. Katikkiro bano abasabye bakomye okuwubya abantu ba Beene.Kamalabyonna ategeezezza nti omulimu gw’okuzzaawo Amasiro si gwakufubutukira, wabula gulina emisoso egiyitwamu.Bino Owomumbuga abyogedde alambula omulimu gw’okuzzaawo Amasiro g’e Kasubi wegutuuse.