Katikkiro Alabudde Obuganda ku Bannakigwanyizi, Temuwa Budde Bitalina Makulu
- ByAdmin --
- Jul 11, 2024 --
Katikkiro Charles Peter Mayiga alabudde Obuganda ku bannakigwanyizi abatambuza engambo ezitaliiko mutwe na magulu nga baagala okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe ebikusike. Katikkiro abadde mu nsisinkano n'Abaami b'Eggombolola mu Buganda n’abakuutira obutawugulwa bannakigwanyizi bano kubanga tebalina kalungi kebaagaliza Bwakabaka.