Katikkiro Alabudde Abavvoola Obuganda, Agamba Benoonyeza Byabwe
- ByAdmin --
- May 15, 2024 --
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu mu Buganda okwegendereza ebafuula abalumirirwa Obwakabaka kyokka nga balina ebigendererwa ebyabwe nga abantu. Katikiro okwogera bino abadde mu bimuli bya Bulange bw’abadde atikkula Oluwalo okuva mu bantu ba Kabaka abavudde ggombolola ez’enjawulo mu masaza okuli Kyaddondo, Bulemeezi, Buddu ne Ssingo.