Katikkiro Akunze Bannabuddu Okwettanira Emisinde Egigendereddwamu Okuzimba Ekisaawe kyabwe
- ByAdmin --
- May 28, 2024 --
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ajjukizza Abaami b'Amasaza ga Kabaka okubeera abayiiya babangewo enteekateeka ezivaamu ensimbi ezivuggirira emirimu egikolebwa ku Masaza okusobola okugakulaakulanya. Katikkiro abadde mu nsisikano n’ekibinja kya Bannabuddu ekikulembeddwamu Ppookino mu kawefube w’okukunga Bannabuddu okwetaba mu misinde egitegekeddwa okuvaamu ensimbi z’okuzimba ekisaawe ky’Essaza Buddu. Emisinde gino gyakubeerawo ng’ennaku z’Omwezi 31 nga ku Lw’okutano lwa Ssabbiiti eno.