Katikkiro Akungubagidde Omutaka Gabunga Eyabula, Akakiiko Kakyanoonya Mutaka Omubbulukuse
- ByAdmin --
- Nov 22, 2024 --
Katikkiro Charles Peter Mayiga akuutidde ab’ekika kye Mmamba okubeera obumu mu kaseera kano nga banoonya omutaka omubbulukuse n'okutereka omubuze. Katikkiro era wakusisinkana ab’ekika ky'e Mmamba omuli ab’Amasiga n’Abenyiriri olunaku lw’enkya ku mbuga enkulu e Bulange Mengo okumaliriza ensonga ezikyalemedde mu ddiiro.