Katikkiro Akubye Abafumbo Akaama, Abakubirizza Okubeera Abeesigwa

Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu okwettanira obufumbo obutukuvu, okuwangana ekitiibwa era bakuume Obwesigwa nga bali mu bufumbo kubanga obufumbo bukola kinene nnyo ku kitiibwa ekiweebwa omuntu. Katikkiro era ajjukizza abantu okukuliza abaana mu mpisa era babamanyise obuwangwa n’Ennono. Bino Kamalabyonna abyogeredde ku mukolo gw’okugatta Eng. Gideon Mayanja ne Hanifah Nakku ogubadde ku Kkanisa y’Abadiventi e Bbunga.


https://youtu.be/9QXODOfPFaM?si=CrpADnhTkDHhDJVU

LEAVE A COMMENT