Katikkiro Akubirizza Abantu Okweyiwa e Namboole, Buddu Egenda Kuttunka ne Kyaggwe

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Kabaka okweyiwa mu bungi mu kisaawe e Namboole nga 2 omwezi ogujja mu kuggalawo empaka z’Amasaza ga Buganda. Empaka zino ez’akamalirizo ziri wakati w’Essaza Buddu ne Kyaggwe ku ssaawa 9 ez'olweggulo kyokka nga wakusookawo omupiira wakati wa Buweekula ne Kyaddondo okulondako anaakwata ekifo eky’okusatu. #Gambuuze #Ageesigika #BBSKATI


https://www.youtube.com/watch?v=TOmA1OVDcXo

LEAVE A COMMENT