Katikkiro Akubagizza ab’Enju ya Matia, Akuutidde Abaana Okukuuma Obumu
- ByAdmin --
- Oct 09, 2024 --
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abaana abaviibwako bakadde baabwe okufuba okulaba nga bakuuma omukululo gwabwe era bewale okutunda eby’obugagga byebabalekera okwewala okufuuka emmomboze. Bino abyogeredde Mutundwe mu maka g’omugenzi Matia bw’abadde agenze okukubagiza abaana olw’okufiirwa nnyaabwe Maria Nanziri Kaddu.