
Katikkiro Akalaatidde Abaganda Okukuuma Obumu n’Okumanya Ensibuko Yabwe
- ByAdmin --
- May 27, 2024 --
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abaganda okubeera obumu n’okujjumbira enteekateeka z’Ebika byabwe kubanga z’empagi z’Obwakabaka. Bino bibadde mu bubaka bwatisse Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko Owek. Ahmed Lwasa bwabadde mu kwabya Olumbe lw’Omukungu wa Kabaka, Ibrahim Kironde mu Butambala.