
Katikkiro Agumizza Obuganda, Ssaabasajja Akyali Bweru wa Ggwanga Waakukomawo Ng’abasawo Bamusiibudde
- ByAdmin --
- May 07, 2024 --
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza Obuganda nti obulamu bwa Ssaabasajja Kabaka bulina okusoosowazibwa okusinga ebirala byonna. Katikkiro asinzidde mu Lukiiko lwa Buganda n’ategeeza abakiise nti Omutanda akyali mitala w’amayanja afuna obujjanjabi okutuusa abasawo lw’ebanaamukkiriza okukomawo. Katikkiro akubirizza abantu ba Kabaka okukola ennyo bazimbe Obuganda.