Katikkiro Aguddewo Olusiisira Lw'ebyobulamu e Najjanankumbi
- ByAdmin --
- Mar 19, 2024 --
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza enziriza ezenjawulo mu Ggwanga okubangawo enkola y’okuyamba ku bakkiriza abetaaga okukwatizaako mu ngeri ez’enjawulo naddala eby’obulamu,ebyengiriza n’enteekateeka endala baleme kwemalira mu kubabuulira kigambo kya Katonda kyokka. Katikkiro abadde ku kkanisa y’Abadiventi e Najjanankumbi bwabadde aggulawo olusiisira lw’ebyobulamu olwategekeddwa ekkanisa y’Abadiventi nga omu ku kawefube w’okujaguza emyaka 75 bukyanga kkanisa eno etandikibwawo e Najjankumbi.