
Katikkiro Agaddewo Olusirika lw’Abakulembeze b’Obwakabaka, Abasibiridde Entanda
- ByAdmin --
- Apr 11, 2025 --
Katikkiro Charles Peter Mayiga ajjukizza Abaganda nti bbo bennyini be balina okwekulaakulanyiza Obwakabaka bwabwe awatali mulala yenna era abasabye okwenyigira mu nteekateeka ezizza Buganda ku ntikko. Bino abyogeredde ku Ssettendekero wa Muteesa 1 e Kakeeka Mengo bw’abadde aggalawo olusirika lw’Abakulembeze mu Bwakabaka olumaze ennaku ebbiri.