
Kansala wa Kyengera ttawuni Kanso Ayimbuddwa Okuva mu Kkooti y'Amagye
- ByAdmin --
- May 06, 2024 --
Omukiise ku lukiiko lwa ttawuni kanso ye Kyengera eyayimbulwa Kkooti y’amagye oluvanyuma lw’emyezi esatu nga awambiddwa abasirikale abatambulira mu mmotook ekika kya ‘drone’ alombojjedde abakulisitu ennaku n’okutulugunyizibwa okuli mu “safe House” n’amakomeraa gyabadde ayitamu mu kkomera. Ono olwaleero yeetabye mukusaba kw’okwebaza Katonda olw’okumuwandako eddusu nayimbulwa okuva mu kkooti y’amagye.