
Kampuni ya UNOC Eyanjulidde Col. Nakalema Enteekateeka Y.okuzimba Etterekero Ly'amafuta
- ByAdmin --
- Mar 07, 2024 --
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusima amafuta ki Uganda National Oil Company UNOC kigumizza eggwanga nti akadde konna kigenda kuzimba etterekero ly’amafuta kiyambeko eggwanga okubeera n’amafuta agamala agayinza okulinnya mu kiseera nga amafuta gakeeye ku katale k’ensi yonna. Bino byogeddwa Ssenkulu w’ekitongole kino Proscovia Nabbanja bwabadde mu kafubo nebannamawulire ku woofiisi z’akakiiko akavunaanyizibwa ku bamusigansimbi akakulemberwa Col. Edith Nakalema.