Kampuni ya Mmwanyi Terimba Esajjakudde, Ekkiriziddwa Okutwala Emmwanyi Ebweru w’Eggwanga
- ByAdmin --
- Nov 20, 2024 --
Gavumenti ewadde Kampuni ya Mmwanyi Terimba layisinsi okutunda emmwamyi ebweru w’eggwanga. Bino byogeddwa minisita w’ebyobulimi, Frank Tumwebaze era atangaazizza nti ekitongole ky’emmwanyi ki UCDA kikyalina obuyinza okutuusa nga Pulezidenti atadde omukono ku bbago ly’etteeka eryayisibwa Palamenti.