
Kampala Ezzeemu Okugaga, Kasasiro Akoze Ensozi
- ByAdmin --
- Apr 02, 2024 --
Kampala ezzeemu okugaga n’okuwunya olwa kasasiro awagamidde mu bantu nga kati boolekedde okulwala endwadde ezenjawulo eziva ku bukyafu. E Kansanga mu zzooni ya Kasanvu, kasasiro akoze olusozi olw’amaanyi, era abatuuze bazituumye amannya g’abakulembeze mi kitundu kyabwe.