
Kaliisoliiso Azudde Emivuyo mu Puloojekiti za Gavumenti, Emirimu Bagikola Gadibe Ngalye
- ByAdmin --
- Mar 04, 2024 --
Kaliisoliiso wa gavumenti, Betty Olive Namisango Kamya alagidde wabeerewo okunoonyereza okw’amangu ku ngeri amasomero ga gavumenti agamanyidwa nga SEED gyegazimbibwamu. Kino kiddiridde okwemulugunya ku nzimba y’amasomero ga gavumenti agali wansi w’enteekateeka ya Uganda Inter-Governmental Fiscal Transfers Program okweyongera nga kigambibwa nti gaazimbibwa mu ngeri ya gadibe ngalye ng’embwa etunda omuzigo.