
Kakiiko ka PAC Kakunyiziddwa Minisitule y’Abakozi ku Mivuyo Egiri mu Kugaba Emirimu gya Gavumenti
- ByAdmin --
- May 22, 2024 --
Ababaka abatuula ku kakiiko ka Palamenti akalondoola ku ntambuza y’emirimu mu bitongole bya gavumenti aka COSASE, batadde ku nninga abakulu mu minisitule y’abakozi ba gavumenti banyonnyole ku mivuyo egiwulirwa mu kugaba emirimu mu bitongole bya gavumenti. Bano nga bakulembeddwamu omuteesiteesi omukulu mu minisitule y’abakozi ba gavumenti, babadde balabiseeko eri akakiiko okwewozaako ku bitatambula bulungi mu mwaka gw’ebyensimbi oguwedde.