
Joel Ssenyonyi Ayanukudde Ebigambo bya Sipiika, Agamba Abantu Balina Kwevaamu Bakyuse Gavumenti
- ByAdmin --
- Jun 25, 2024 --
Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti Joel Ssenyonyi atabukidde Sipiika wa Palamenti Anet Anita Among olw’ebigambo byeyayogedde bweyabadde ku mukolo gw’omubaka Muhammad Ssentaayi e Lwengo n’atendereza omubaka Cissy Namujju olw’okulya n’abantu be baakulembera kyagamba nti kabonero akalaga nti awagira enguzi. Wano Ssenyonyi wasabidde Bannayuganda okulwanirira enfuga ennungi.