
Hon. Ssenyonyi Yeevumye Erinnya lya Yoweri Lyebaamutuuma, Agamba Omuzira Eggwanga Alimazeewo
- ByAdmin --
- Jan 23, 2025 --
Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti ne baakulembera bakyomedde gavumenti ya NRM olw’okulemererwa okuteekesa mu nkola ebyo byeyasuubiza Bannayuganda n’ategeeza nti omusaayi ogwayiika mu lutalo olwagireeta mu buyinza gwandiba nga gwayiikira bwereere. Bano balumiriza nti obuli bw’enguzi, okutyoboola eddembe ly’obuntu, okukozesa obubi obuyinza n’ebirala, byeyolese nnyo mu myaka 39 egya gavumenti ya NRM nga ekutte enkasi y’eggwanga ekyongera okubbika eggwanga mu ddubi