
Hajati Hanifah Karadi Yegaanye Eby'okuva mu Kalulu, Agamba Akalulu Akyakalimu Nnyo
- ByAdmin --
- Mar 13, 2025 --
Abantu mu Kitundu kye Kawempe basuuze bulindaala okulonda omubaka wabwe . Abantu 10 bebasunsulwa akakiiko k'ebyokulonda mu kuvuganya kuno era bamaze ennaku 13 nga bawenja akalulu. Omu kubeesimbyewo mukuvuganya kuno munna NRM wadde nga yesimbawo kululwe ng’ono ye Hajjat Hanifah Kalaadi asambazze ebibadde byogerwa nti avudde mu kalulu n’alekera munna NRM eyakwasibwa bendera y’ekibiina Hajjati Faridah Nambi