Habib Buwembo Avudde mu Lwokaano lwa Lubaga South, Agamba Amaanyi kati Agatadde ku Kukunga Buwagizi

Ssaabakunzi w’Ekibiina ki National Unity Platform Omuggya Habib Buwembo alangiridde mu butongole nti avudde mu lwokaano lw’okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Lubaga South okusobola okukwasaganya obulungi obuvunaanyizibwa obwamukwasiddwa abakulira ekitebe. Buwembo agamba kati essira agenda kuliteeka ku kukunga buwagizi mu kalulu akajja aka 2026. Buwembo agamba nti kino akikoze mu mutima mulungi okulaba nti wabeerawo okwagaliza bannakibiina abalala abegwanyiza ekifo kino.


https://www.youtube.com/watch?v=x2O5UowSuiE

LEAVE A COMMENT