Gunsinze Aliwa Bitono , ab’Enju ya Tamale Mirundi Beetondedde Obwakabaka Nebasonyiyibwa
- ByAdmin --
- Sep 26, 2024 --
Obwakabaka bwa Buganda bukkirizza okwetonda kw’aboluganda lw’omugenzi Joseph Tamale Mirundi olw’ebigambo eby’ensimattu n’okuvvoola Obwakabaka kweyakolanga mu biseera webaamukyalizanga ku mikutu gy’amawulire ne ku mitimbagano. Olwaleero ab’oluganda lwa Mirundi bakiise Embuga ne basisinkana Katikkiro Charles Peter Mayiga okutuusa okwetonda kwabwe mu butongole era nekukkirizibwa.