
Gavumenti Yeegaanye eby’Okubeera Emabega wa M23 mu Lutalo lwe Congo, Ekitebe kya Uganda Kinunuddwa
- ByAdmin --
- Jan 30, 2025 --
Gavumenti ya Uganda ekakasizza nga ekitebe kya Uganda mu Congo bwekimaze okudda mu mikono gya gavumenti yaakuno era n’abakozi bonna ku kitebe kino bwebali mu mbeera ennungi era teri bulamu bwamukozi yenna buli mu matigga. Alipoota minisita omubeezi ow’ensonga z’ebweru John Mulimba gy’ayanjulidde Palamenti era n’akakasa nti gavumenti ya Uganda terina kakwate konna nakabinja k’abayeekera ba M23 nga bwebibadde byogerwa.