Gavumenti Esazeewo Okuddiza Abavubi Ebintu Byabwe Ebyawambibwa , Bagenda Kuddamu Okuvuba

Gavumenti nga eyita mu minisitule y’ebyobulimi n’obuvubi esazeewo okuddiza abalunnyanja ebintu byabwe ebizze bibawambibwako mu bikwekweto ebyenjawulo ebizze bikolebwa ku nnyanja. Minisita omubeezi ow’ebyobuvubi Hellen Adoa ategeezezza nti gavumenti ekyalina okusoomoozebwa olw’abantu abeerimbika mu linnya ly’eggye erirwanyisa envuba embi ku nnyanja nebatulugunya abalunnyanja.


https://www.youtube.com/watch?v=20HIk71UnWw

LEAVE A COMMENT