
Gavumenti Eremereddwa Okukola ku Mukutu gwa Uganda Telecom, Bagukwasizza Musigansimbi
- ByAdmin --
- Mar 15, 2024 --
Ababaka abatuula ku kakiiko ka Palamenti akalondoola ku eby’empuliziganya bawuniikiridde, oluvannyuma lwa gavumenti okusuulawo ttawulo n’ekkiriza nti eby’okuddukanya kampuni yaayo ey’ebyempuliziganya bigiyinze era yafunye dda Musigansimbi Omuwalabu okugiddukanya. Musigansimbi ono waakutwala amagoba mangi okuva mu Kampuni eno g’eneekola olw’emigabo ebitundu 60% egigenda okuweebwa musigansimbi.