
Gavumenti Ereese Ennyongereza y’Embalirira ya Buwumbi 4,255, Etunuulidde nnyo Okunyweza Ebyokwerinda
- ByAdmin --
- Mar 12, 2025 --
Gavumenti ng’eyita mu minisitule y’ebyensimbi eyanjulidde Palamenti ennyongereza mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi guno 2024/25 ng’eno ya buwuumbi 4,255 era nga ya kukola ku mirimu egyabuusibwa amaaso mu kuyisa embalira y’omwaka guno. Tukitegeddeko nti ennyongereza eno mu mbalirira etunuulidde okukola ku bigendereddwamu okunyweza eby’okwerinda okuyita mu ggye ly’eggwanga n’ekitongole kya Poliisi.