Gavumenti Erangiridde Okugula Ekyuma Ekikebera Cancer owa Buli Kika mu Mubiri
- ByAdmin --
- Jan 23, 2024 --
Gavumenti ng’eyita mu minisitule y’ebyobulamu esazeewo okugula ekyuma ki “PET Scan” nga kino ky’ekikozesebwa okuzuula kkookolo owabuli ngeri gyaba yekukumye mu mu biri nga kigambibwa nti kino eyabadde omubaka wa Dokolo Cecilia Ogwal, kyeyabadde yeetaaga okufunira mu Uganda obujjanjabi, awatali kutindigga ng’endo mpanvu okugenda mu Buyindi gyeyafiiridde. Kino kiddiridde akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti okutuuza akazito ku gavumenti eve mu kuliisa ebijanjaalo empiso eteeke essira mu kusitula eby’obujjanjabi mu Uganda, kikendeeze ku muwendo gwa bannayuganda abagenda ebweru okufunirayo obujjanjabi. Bino byonna bibadde mu lutuula lwa palamenti etenderezza emirimu egyakolebwa Cecilia Ogwal mu bbanga ly’amaze ng’awereza eggwanga.